ESSANYU N’OKUTEBENKERA (#6278)

Ayi Katonda!  Ozze obuggya era osanyuse emmeeme yange.  Otukuze omutima gwange.  Omulise amaanyi gange.  Ntadde ensonga zange zonna mu mikono Gyo.  Ggwe Muluŋŋamya wange era Ekiddukiro kyange.  Siriddayo kunakuwala n’okwekubagiza; Naabeeranga omusanyufu era eyeesiima.  Ayi Katonda!  Siriwankawanka nate, wadde okukkiriza emitawaana okummalako emirembe.  Siryemaliranga ku bintu by’ensi ebitasanyusa.  
Ayi Katonda!  Ggwe Oli mukwano gwange nnyo okusinga nze bwe nneeyagala.  Neewaddeyo eri Ggwe, Ayi Mukama.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

ESSANYU N’OKUTEBENKERA (#6279)

Ayi Mukama! Tuli banafu; otuwe amaanyi.  Ayi Katonda! Tetulina kye tumanyi; otufuule abamanyi.  Ayi Mukama, tuli bankuseere; otufuule abagagga.  Ayi Katonda!  Tuli bafu, otuzzeemu obulamu.  Ayi Katonda!  Tuli buswavu bwennyini; otufuule abeekitiibwa mu bwakabaka Bwo.  Singa Ggwe otubeera, Ayi Mukama tunaafuukanga emmunyeenye ezitemagana.  Singa totubeera, tujja kubeera ba wansi nnyo n'okusinga ettaka.  Ayi Mukama!  Otuwe amaanyi.  Ayi Katonda!  Otuwe obuwanguzi.  Ayi Katonda!  Otusobozese okuwangula okwefaako ffe beene era n’okufuga okwegomba.   Ayi Mukama!  Otununule mu njegere z'ensi eyokwegomba.  Ayi Mukama!  Otuzzeemu obulamu ng’oyita mu mpewo y'Omwoyo Omutukuvu bwetutyo tusobole okugolokoka okukuweereza Ggwe, twenyigire mu kukusinza Ggwe era n’okweweerayo ddala mu Bwakabaka Bwo mu bwesimbu obwannamaddala.
Ayi Mukama,  Ggwe Owoobuyinza.  Ayi Katonda, Ggwe Asonyiwa.  Ayi Mukama, Ggwe Alumirirwa.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

ESSANYU N’OKUTEBENKERA (#6280)

Ayi Katonda, Katonda wange!  Ggwe Ssuubi lyange era Omwagalwa wange, Ekiruubiriwa kyange era n’Okwegomba kwange ebisingira ddala!  Mu bwetoowaze obungi ennyo nkusaba  Ggwe onfuule omunaala gw'okwagala Kwo mu nsi Yo, ettabaaza y'amagezi Go wakati mu bitonde Byo, bendera y'omukisa omutukuvu mu Bwakabaka Bwo.  Ombalire mu baddu Bo abeeresezza ebirala byonna okuggyako Ggwe, abeetukuzza ne bava ku bintu eby'ensi eno, era ne beesumulula okuva ku kupikiriza  kw’amaloboozi gaboogera eby’obutaliimu nsa.  Okkirize omutima gwange gubugaane essanyu nga oyita mu mwoyo gw'okukakasibwa okuva mu bwakabaka Bwo, Otukuze amaaso gange nga bwe galaba amagye ag’obuyambi  obutukuvu nga gakkirira ku nze obutasalako okuva mu bwakabaka obw'ekitiibwa ekyamaanyi gonna.
Mu mazima, Ggwe Ayinza-byonna, Oweekitiibwa-kyonna, Owoobuyinza-bwonna.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

ESSANYU N’OKUTEBENKERA (#6281)

Ayi Mukama wange, Omwagalwa wange, Okwegomba kwange!  Onfuule mukwano Gwo mu kuwuubaala kwange era omperekere mu kuwaŋŋangusibwa kwange.  Oggyewo okunakuwala kwange.  Onsobozese okwewaayo eri obubalagavu Bwo.  Onzijulule ku birala byonna wabula Ggwe.  Onsikirize nga oyita mu buloosa Bwo obwobutuukirivu.  Onsobozese okutabagana mu Bwakabaka Bwo n'abo abeekutulidde ddala okuva ku birala byonna wabula Ggwe, abayaayaanira  okuweereza ku mufuubeeto Gwo omutukuvu, era abayimiriddewo okukola mu Nzikiriza Yo.  Onsobozese mbeere omu ku bazaana Bo abatuuse mu kusiimibwa Kwo okulungi.  Ddaladdala, Ggwe Oweekisa, Omugabirizi.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

